EKKOMERA
ERIGGULE
Omuzannyo gwoku Radio ogulaga engeri abakyala gyebeenyigidde mu kuteeka
munkola etteeka lyolukiiko ttaba miruka olwa mawanga amagatte nnamba 1325
erikwata ku ddembe n’obukuumi.
Gwategekebwa:
International Women’s Tribune Centre
Abawandiisi: Stephen Eriaku
Bearice Birungi
Lucy Orech
Joan Akubu
1
ACT 1
Episode 1: MUBUGUBI
2
Abazannyi:
Lucy Akello : Munnateeka atikkirwa
Yoramu Oduladebe: Taata wa Akello
Opungor: Mulirwana wa Oduladebe
Tereza: Maama wa Akello
Eseza: Mukwano gwa Tereza
Shaban Odungkara: Omusiramu naggagga mu Lira
Juma: Mukwano gwa Odongkara
Peter Ochen: Munnamateka mu Lira
Betty: Mukyala wa mukwano gwa
Opungor.
Ikasa : Muwala wa Eseza
Handsome: Kalabaalaba wemikolo.
Reverend Max: Omubuulizi wekisomesa
Mikwano gya OPungor
Abantu
3
SCENE 1: AMATIKKIRA, MUMAKA GA ODULADEBE
Fx: (Obuyimba obwe kimpowoze buwulirwa abantu abali mu mbeera yemikolo
beenyumiriza emboozi zaabwe mpola mpola nga bwebasekamu noluusi
okwongeza ku maloboozi. Ezimu kumboozi ziyitamu nnyo .
Opungor ne banne banyumya kungeri opungor gyeyayambamu Akello okusoma .
Obuyimba bugenda buggwekerera mpola mpola.
Opungor: Naye mumazima ddala baanange omuwala wa Oduladdebbe ono nze
musomesezza okumalako emisomogye. Senga saamuwola bukadde bubiri obwali
bubulayo mu lusoma luno olusemmbyeyo, yali asazeewo omuwala atuule ppaka
lwe balifuna ensimbi. Mpulira ngannakola kinene nyo ate Oduladebe nebwabera
nga alemerwedwa okunsasula, nsobola okugumikiriza omuwala nansasula mpola
ebitundundu kumusala gwe .
Mukwano gwa Opungor asooka: (Amulya ekirimi nga bwamusaagisa) ob’osobola
okuzirekayo n’obeera ng’osasude eby’obuko, n’omwetwalira nga mukazi wo
ow’okusatu.
Fx: Bonna baseka,
Mukwano gwa Opungor ow’okubiri. Ye Opungor, ate ddala mubutuufu ye omu kubawala
abalungi benali ndabye n’olwekyo tekijja kuba kibi, eeee Opungor…. eeee
(amusomooza) osobola kutwala Akello nga mukazi wo ow’okusatu kasita kitaawe
alemererwa okusasula , ee…
Mukwano gwa Opungar asoooka: (Amusoomooza) ha.. leero gwe partrick, abawala olowooza
baloowooze, n’oyo Betty gwewakawasa akyali mulungi gy’oli, Gwe tolaba nti
owezezza emyaka ana mwesatu!
Fx: Enseko zeeyongera :
Naye muli batuufu Akello oyo mubutuufu afaannana bulungi ng’ogyeko
eby’okuttikkriwa mu bya mateeeka.
Oduladdebe mubutuufu alina omukisa katumusabire afune omusajja omulungi
ow’okumuwasa ………………..
Fx: (Alaga nti akkirizza era enseko zigenda mumaaso ng’obuyimba bugenda
buggwekerera mpolampola. Akazindaalo kawulirwa nga kalaga ng’amaloboozi
agali ebweru w’effumbiro abakyala nga bategeka eby’okulya by’omukolo nga
amasowaani, ewuma, amaseffuliya ku muliro biwulirwa.)
Eseza: (Muddoboozi eriyomba ng’ayogera ku by’effumbiro ate abakyala abalala nga bagende
mumaaso n’okunyumya biwulirwa). Naye Kasa kiki kyembadde nkusomesa
emyaka gino gyonna? Kati owezezza emyaka kuminamunaana oli mu siniya
yakusatu naye era tomanyi kufumba woo…… N’ebyo kusomero bikulemye kati
4
olaba Akello? Olaba kyeyefudde? Nga abonyebonye okutuuka awo! Waali kati
(ayogera mu kaama ) Kale ekijjulo kino kikye yekka. Okitegeera? Naawe
osobola okutuuka kukino muwala wange .
Betty: Ye mmwe abawala, temulaba ngaffe ba nyammwe tukola kalogoyi? Munnimiro ne
mubutale naffe tubaweerere wamu n’abaana abalenzi? Temumanyi nti tubaagaliza
nammwe okutuuka ku kino? Ffe bakitaffe baasomesangako bakojjammwe
bokka…………
Eseza: {Amulya ekimuli nga bwagereesa)
Haa era kati mulabe abamu bakojjamwe kyebali kati. Egwanga yemutamiivu
omukuukutivu kukyalo kuno(baseka), Otoa ye mukuumi w’ebisolo mukibuga
kino …………
Betty: (Amusala ekirimi) Ogamba ono omulaalo w’ente z’ekyalo kino?
Fx: (Enseko zeyongera okuva mubakyala zigenda ziggweerera )
Handsome: Bassebo nebannyabo mumpulirizeeko katono(Emboozi ziggwekerera n’obuyimba
bugwekerera ) Mwebale nnyo bassebo nebanyabo kantwale omukisa guno
okubeeyanjulira nga nze kalabaalaba w’omukolo guno omukulu
bweguti.Mpitibwa (akolola ngatereeza omumiro) Mr. handsome Okello (enseko)
Nedda kino nkitegeeza, osobole okubuuza maama wange: Nazalibwa nga ndi
mubi nnyo ssebbijjo kale maama wange olwokwagala okunzizaamu amaanyi
yantuuma erinnya eryo Handsome Naye nga bwe mundaba wano (atereeza
eddoboozi) ndowooza teyali mukyamu ee abakyala? Ee (ensekong’abakyala
abamu balekaanira waggulu nti Waapi ngeno bwebaseka (akasiriikirilo)
Mbanirizzannyo ku matikkira ga naabakyala waffe Lucky Akello (engalo
n’obuluulu) Akaseera kano omutikkire atutuukako nga ava mu saluuni jeyagenze
okwegogola alyoke ayake(Amaloboozi agaleekaana agalaga nti Akello atuuse Era
bassebo nebannyabo wuuyo atuuse okuva kulussozi Makerere university
Munnegatteko tumwanirize ffenna(obuyimba busebemgerera mpola mpola )
Nabakyala asirikamu Lucky alinnyisa eddoboozi Akelloooooo!! DJ tukubire
akayiba akamwaniriza owekitiibwa Nabakyala on ye CHOGM waffe olwaleero
abeemikwano (enseko n’obuluulu) Muyimirire tumusseemu ekitibwa Nabakyala
wa Lira wuuyo owekitiibwa twwesimye okulaba olwaleero (enseko) Basasebo ne
bannyabo kati tutuuleko nga Nabakyala bwamaze okutuula mubitiibwa (enseko)
amaloboozi g’abnyumya ( akasiriikirriro kabaantu bakakkana
Era kaakati njagala okuyita mu Rev. Max njagala okuyita katonda okubeera wo
kumukolo guno era akulembere omukolo guno era agobe omulabe setaani okuva
mumbuto zaffe (enseko entonotono ).
Rev. Max: Abantu ba katonda Haleluyaaaaaaaa!!!
Abantu: Aminaaaaaaaaaaa!!!!Rev. Max: Eee yeee, ekyo kye kyokulwanyisa ekisooka
okugoba omulabe (enseko entonotono ) Nga ssinnasaba munzikirize nsooke
5
njogereko eri omu gole waffe katono .eeeeeeeeee………eeera Nabakyala Lucky
Akello (enseko) Nabakyala wamu nabazadde baffe mbadde mbalaba nga balwana
olutalo olunene okulaba bnga bafuula Akello omuwanguzi . Olwaleero neebaza
Katonda nti kitukiridde.
Katusabe Mukama Katonda kitaffe ali waggulu, tukwebaza olw’olunaku luno
tukusaba owe omukisa eri byonna ebinaakolebwa leero Tuweereze omwoyogwo
omutukuvuvu leero ne bulijjo Akello muwe omulimu omulungi ate n’amaka
agage kububwe ate mukama katonda waffe n’ebyokulya byetugeenda okulya
obiwe omukisa, Abamu balina emmere naye tebasobola ku girya abalala baagala
ekyokulya naye tebakilina Mukamama ffe tukwebaza kubanga byombi tubilina.
Bino byonna tubikusabye mulinnya lya yusu mukama waffe, aminaaaaaaaaa.
Handsome: Webale nnyo Rev. Max olw’essaala eyo ennungi . Mukiseeera kino kampite DJ
atusanyuseemu n’oluyibmba oulungi nga bwetunywamu n’oluvannyuma taata wa
Nabakyala anayogerako gyetuli.
Fx: (Akayimba kawulirwa, Amacupa n’amagiraasi gakubagana, akayimba
kaggwekerera ng’Oduladebbe bw’akuba ku kazindalo ayogera.
Oduladebbe: ( Kukazindaalo) Bassebo ne bannyabo, nze muntu akyasinze okuba omusanyufu
mu Uganda yonna olwaleero era mubutuufu nze ntikiddwa olwaleero! Nabakyala
wange ate ngamuwala wange asaaga busaazi (enseko entonotono) . Nsanyuse
okubalaba mu maka gange ngatujaguza obuwanguzi bwetutuseeko . kino
nkyogera kubanga kubadde kugatta maanyi Akello wange era nabakyala wa
Africa okusobola okumaliriza emisomo gye , banange ngatuvudde wala!
Nzijukira bwetubaddenga kyenkana tetulina mmere kubuli ntandikwa yalusoma!
Mazima ebisale byessomero mbadde mbijja mukulanga miguwa , kuvuba
n’okutunda kubirime wamu nemmere …maama wa Akello Tereza …..
gwenjagala ennyo (enseko) naye abadde akola kabalagala ngatukunganya
obusente bwomwana oyo. Naye bwemutunulira kati sejjusa kubanga ndaba
ebibala byentuyo zaffe. Abantu abasinga bammalangamu amaanyi ngamperera
omwana naye bwemutunulako kati Nabakyala wa Africa ndabiraddala nga buli
muzadde asaanidde akikole, Bassebo nebannyabo, omwana omuwala wamugaso
ng’omwana ow’obulenzi , kale nabawala tufube tubawenga emikisa basome. Nze
ndowooza kyanyanguyira kubanga Lucy y’emwana yekka gweninna.
Ate mungeri eyenjawulo njagala okubanjulira mukwano gwange omugya mwami
Odongkara ate nokumwebaza olwokufuula omukolo guno ki kyeguli, ssebo
yimirirako abantu bakulabe (ayimirira era abantu bakuba engalo nessanyu.
Kanziremu nate okubaaniriza mwenna olwokujja , mukimanyi bulungi nti
omukolo ogutaliiko banno tegunyuma , Mwebale nnyo mwebalire ddala.
Fx: Obuluulu, engalo, okayimba akekimpowooze kawulirwa, emboozi zigenda
mumaaso, akazindaalo kasika ebyogerwa mukakukuulu ka Opungor n’emikwano
gye.
Mukwango gwa Opungor Asooka: Era Opungor, ono omusajja yeerabidde kyewamukolera!!
6
Mukwano gwa Opungor owokubiri: Yee, ate bwagambye nti (amugeegeenya mukusaaga) “
Kambanjulire mukwano gwange” mbadde ndowooza nti “ha ekiseera kyaffe
ekyokufuna kubitiibwa kituuse ! Muganda waffe bamwebazizza olw’obuyambi
obwekizadde bweyawaayo!” Naye nga nedda, bagamba ono odongkhara
kiswaza!!.
Mukwano gwa Opungor asooka: Yee…. Ate omanyi kyekitegeeza? Nti muganda waffe
yeefunidde omukazi omulala!! (baseka nnyo)
Opungor: (Aboggola n’obusungu bungi) Musirike mmwe; temulaba nti nnyomeddwa
nnyo!! (Akasirikiriro akamangu era abantu bonna bakyuka okuwuliriza,
nakayimba kakendeera nnyo naye nga era kawulirwa). Kyebava bagamba nti
kirungi okuyamba ente kubanga osobola okuginywamu amata oba okuyamba
embwa kubanga eboggola n’ekuwonya abalabe abakulumbye . naye abantu
abamu , obayamba naye tebasiima. (Nga alekanira waggulu) Oduladebe,
ogalinye gyegava, tosobola nakusiima obuyambi bwenakuwa okumalayo ebisala
byessomero bya muwalawo oyo omutali, nti era teyandisobodde kumalako senga
samuyamba? Kale enkya oteekwa okunsasula ate ngotaddemu n’amagoba
getwaakaanyako.
Fx: (Amaloboozi gawulirwa nga bulir omu ayogera kikye ku Opungor)
Era enkya kumaliiri nzijja, ntwale oba ttakalyo oba ako kawalako kemuuyita
(agereesa) ka nabakyala, kajja kufuuka kakazi kange ate nga kaddu.
Fx: (Alaaka, ngafuluma eno abantu nga bwebamuviira ayitewo , eddoboozi liwulirwa
nga abulirayo ewala) Oduladebe , gakulemye kutereka ku z’ofissiza kumukolo
ozimpe. Katulabe oba (agereesa) ono odongkara wammwe anabayamba eeee.
7
SCENE 2: AKANYOLAGANO KUMAKYA MUMAKA GA
ODULADEBE
Fx: Obunyonyi bw’okumakya bukaaba , ebigere by’omuntu atambula biwulirwa
ngabisembera, oluggi lukonkonwa n’amannyi.
Opungor: Koodi abeeno (ayongera okukonkona ennyo) Oduladebe , okyebase ? Era gwe
tojja kuwobna bwaavu Fuluma ompe sente zange.
Oduladebe: (Yeegayirira nga akayali munda) Opungor nkwegayiridde ebintu bikwate
bulungi.
Opungor: (Mubukambwe) Ogambye ki? Mbikwate bulungi!!? Mbikwate bulungi!!
(Eddoboozi nga lyabukambwe nnyo) Bwe.. bwe.. bwe nnali nfuba okulaba
muwalawo nti amala emisomogye, ani eyali abikwata obulungi? Aa
bwenagumikiriza omwaka oguwedde gwonna ngatonasasula ani eyali abikwata
obulungi? Kakati ofunye n’amanyi agangamba okukwata obulungi.
Fx: Oluggi luggulawo era lweggala nga oduladebe afuluma.
Oduladebe: Bambi Opungor, Nsonyiwa ku ebyo ebyabaddewo eggulo. Nabadde nentengero
nganjogera mu bantu nenneerabira n’erinnyalyo anti gwemulundi gwange
ogusoose okwogera kumukolo ogwekitiibwa. Naye munnange nasiima nnyo
byewankolera. Mpayo akadde akalala njakukusasula, omanyi ebya ssente leero
ziri wano enkya zikyalidde omulabewo.
Opungor: Ogambye ki? Kati ndimulabewo? N’enkuwola ssente n’ompita omulabewo , kati
kankulage omulabe kyali.
Fx: (Yekandagga n’obusungu ngagenda ku kasiisira ka Akello) Kantwale Akello
ewange okutuusa lw’ononsasula.
Tereza (Akaaba munnyumba ) Maaama, maama , yaaye, yaaye nedda, nedda , mwami
Opungor nkwegayiridde lindako lindako.
Fx: (Oluggi luggulawo , Tereza awulirwa ebigerebye ngafuluma bigere byerere
afukamirira Opungor)
Ssebo mwami Opungor, lowooza kukyogenda okukola, muwala wange Lucy
tomufuula kyabusubuzi. Mulowoozeko nga muwalawo, tubadde bamuliraano
okumala ebbanga ddene. Olunaku lwajjo kwabadde kwerabira bwerabizi tewali
yakigenderedde. Tuweeyo kubudde tujja kukusasula.
Opungor: Mukazi ggwe, eesh , jja amagalo ku mpale yage!! Balo ono nze gwennenya .
Nalowooza nti ebbanga lino lyetumaze ngatuli bamuliraano buli omu yandibadde
ategeera munne naye balo……….
8
Fx Oluggi metres nga mukaaga okuva webali luwulikika nga luggulawo. Akello
awulirwa nga afuluma akasiisira ke, waliwo akasiriikiriro ngabatambula mpola
okubatuukako.
Akello: (Mpola mpola mubukkakkamu naye nga akitegeeza) wasuze otyano mwami
Opungor.
Opungor: Aa aa nze ssibuuza bakazi ku makya (amala geyogerera) nzize wano kukutwala
kasita tebasasula ssente zange. Jangu tugende!
Fx: (N’obukkakkamu) Era ssente ezoziri mmeka mwami Opungor?
Opungor: Lwaki Ombuuza? Nze nkuweredde nnyabo eyeeraga , nkutwaala!!
Tereza yesaasabaga abantu nga mukaaga bavuvuuma.
Akello: (Akuuma obukkakkamu) ekyo nkimanyi bulungi nga bwewankolera ekisa
nensobola okumalako emisomo gyange era nakakasa nti nze nasiima nnyo
olwekyo kyewankolera okusinga nebazadde bange kubanga kyaviira ddala
mumutima gwo n’osalawo okuyamba muwalawo asobole okubeera obulungi.
Naye ffe okusobola okukusasula amangu kumanya ssente mekka z’obanja?
Mwami Opungor otubanja ssente mmeka?
Opungor: Ha, olowooza osobola okunsasula kakati? Olina ensimbi z’okukulidde
munnyumba? Buuza kitawo zemubanja.
Oduladebe: Zonna awamu ziri bukadde bubiri, naye muwala wange bino saagala
obyeyingizeemu, kiri wakati wange nemuliranwa wange.
Opungor: Bukadde bubiri bwokka? Omwaka guyisewo kasokanga otwala ssente
n’olowooza nti zikyali bukadde bubiri? Kati mulimu amagoba ga.. ga .. ka.. ka…
kadde kalamba.
Akello: (Akaayana mukkakkamu) Kirungi mwami Opungor, okimanyi bulungi nti
bwewaba tewali bukakafu oba ndagaano yonna mubuwandiike kyetaaga feena
okukkaanya kwekyo kyetukirizza . N’olwekyo nkusaba okendeeze amagobaago
gabeere emitwalo kkumi.
Opungor: Oduladebe, Eno yengeri gy’okuzizaamu muwalawo? Okweyingiza munsonga
zabasajja bwati? Kino tekiririzika, muwala muto, ekifo kyo kiri mu ffumbiro,
munnimiro mpozzi ne mu kisenge. Ekyo kitegeere managu ngatonanyongera
kufulumya kigambo kyonna mu kamwako akasirusiru.
9
Akello: Awo oteesa otya mwami Opungor , singa tulemererwa okukkanya ku ky’oyagala?
Opungor: (Amala geeyogerera) nakugambye dda nti nkuntwala.
Akello: Ate kimanye nti okutiisatiisa mu ngeri eyo kukuteekako omusango gw’okuwamba
omuntu n’ekigendererwa eky’okumujjako akobuntu ngogerageranya obulamu ku
nsimbi. Ate kimanye nti abajulirwa wano bayinza okukwefuulira nebakwogerako
ebyaswakaba mumbuga zamateeka senga otuukiriza okutiisatiisakwo okwo.
Opungor: Abange , njagala obukadde bwange obusatu wano kati ; oba ssi ekyo ng’antwala
ono omuwala wammwe omusirusiru okutuusa nga munsasudde zonna.
Akello: Mwami Opungor, muwalawo omutunda ssente mekka?
Opungor: Kiki? (anyiiga, asirikamu) lwa.. lwa.. lwaki ombuuza? Abaana bange
ssibagerageranya na ssente.
Akello: Nze ndi wawansi nnyo okusinga muwalawo, nze bamapanyiseemu olwensimbi
nga tekisoboka?
Opungor: {Asiirikirira okumala akabanga ngeno yewunaganya ku kiki kyaba ayogera)
Kale mubadde mwagala mbawe bbanga ki?
Oduladebe: Opungor, fenna tuli bakozi mumaka muno tujja kukusasula obukaddebwo obubiri
mu myezi mukaaga.
Opungor: Ekyo kyewangamba n’omwaka oguwedde . wakamala okukola omukolo
ogwebbeeyi kyokka nga nze tonnansasula. Ojja kumpa obukadde bubiri , wakiri
nekitundu mu mwezi gumu okuva kati era ekyo kye kisembayo,
Akello: Mwami Opungor , kunsi kuno tewali kisembayo . Tusobola ffena okukkiriza naye
ate oluvanyuma ffena netufa mumwaka. Ekintu kyonna kisoboka okubeerawo \.
Ate omukola gwajjo twayambiddwako mukwano gwange mwami odongkara .
Nze nsaba okkirize tukusasule obukadde bubiri mu emitwalo kkumi mumyezi
esatu.
Opungor: (Asirikirira) Mbawadde emyezi ebiri ngamunsansudde okukadde bubiri mu
emitwalo abiri. Njakuleeta sentebe wakakiiiko kekyalo ng’omujulirwa tuwandiike
endagaano. Ate singa tebubadde bukkakkamu bwono muwalawo, mbadde
sigenda ngalo nsa, wakiri nandituttemu ettaka lyammwe olwaleero. Hmmm mwe
muzanya!!
Fx: Opungor awulirwa ngatambula agenda nobusungu, nebigere byabalala nga
bagenda Mpola mpola omu ku omu abawaka abasatu basigalawo)
10
Tereza: maama, maama, maama!! Muwala wange mbadde ndowooza nti
bakututte! eee kyamugasso okusomesa abaana olaba Akello engeri
jakkakkanyizaamu omulala? Abakazi! He.. he.. ssebo tetuli basiru ¡!
Odongkara: Tereza mukazi wange sooka okakkane katono oli mukusaagira mu nsonga enkulu
bweti! Kakkana gwe tulabe bwetugonjoola ensonga. Mw’erabidde ñamaso ate
nemwewulirira namatu gammwe ebigenda mumaaso , kati tokole ki? Akello lero
oyogedde nobuvumu era ompadde amanyi, ogenda kulaga abantu bonna nti
tetwakuwererera bw’erere. Oyogedde n’omatizza Opungor atuweyo emyezi ebiri
kyoka nze ngambadde ndowooza nti twetaaga mmukaaga .
Kirabika olina entegeka, tugenda kukola ki okufuna ensimbi ezo mu Lira waffe
eno ngabwomulaba Opungor mumanyi tewali kyatasobola kukola, wandikirizza
nomufumbirwa?
Tereza: (Akuba omulanga) kiki?
Oduladebe oli mulalu? Oyo omusajja owenkuyanja yabakazi nabaaana bwomuwa
Akello nzenga nnoba wakiri okufa okusinga okulaba muwala wange nga
abonaabona wano kinya nampidi
Akello: Taata , maama musonyiwe olwekyo ekibadewo, nkimanyi ku fenna tekuli
musobya. Munange ekizibu kino kireme kubaawula. Twetaaga kulwanira wamu
kitole lwetujja okuwangula.twongere okwegayirira Opungor atuweyo obudde .
nange kantukirire ku mikwano jange mukibuga tulabe kyetusobola okukola. Naye
kati nfubye okulaba nti Opungor akitegeera nti ajja kuba nga azannyira ku
mateeka bwatukwatako, naye ekyo tekitweyibaaza kubanga ebintu byaffe biri mu
mattiga ssenga tetwanguwa kukkakanya Opungor tusobole okumuwangula
11
SCENE 3: ENSISINKANO YAB’AGALANA - LIRA TOWN
Fx: Enyimba zigunda okuva mu radio eyomulembe mumaka ga Odongkara,
Odongkara afuuwa aluwa ngabwagoberere obuyimba, bakonkona oluggi.
Odongkara: Oluggi luggula, mbadde nkulowoozako nnyo era nga mpulira nina ekimbulako ate
mukiseera kyekimu nokonkona oli otya mukwano?
Akello: Bulungi, ngabulijjo ndimukwetala kunooya mirimu.
Odongkara: onoonya ki mukwano ¿
Akello: fant citrus, naye njakusiibula mangu kubanga nina yintavuyu mukibuga kusawa
mwenda kati wabulayo essaawa emu naye ndowozezza nti kanjira mberako
naawe.
Fx: Amacupa gawulirwa nga gaggulwa nga nebyo kunywa biyiika mu glass,
obuyimba obwekimpowooze bugenda mu maaso.
Odongkara: Ekyo tekirina mutawaana mukwano, (awulirwa nga nywa soda) okuberako nange
sikizibu, wano bulijo wendi kululwo woyagalira, ekyo okimanyi okuva
lwenakusisikana mu Kampala, nasalawo nti gwe osaanidde okuterekerangayo
obudde.
Akello: Oh ekyo ngakirungi oyogera nnyo ebigambo ebinyuma shaban! Kyabbeyi
okubeerakoo naawe. Olusi okusobola okukkanya kukunyigirizibwa kwemberamu
okutulako naawe kinyamba nnyo . webale kubeera womukwano mulungi. Ate
Shaban bazadde bange wamu nange tukwebaza nnyo okuva kuntobo ye mitima
gyaffe olwo mukolo ogwabadewo ku nkomerero ya sabiiti eno. Oli mussajja wa
kisa, Shaban nkwebaza nnyo olwo omukwano ogwo , bwenkugeregeranya ne Sam
ggwe okyali wala mumukwano jenakabeerako najo emyaka egiyise.
Odongkara: Sam? Sam? Nzijukiza, mpozzi Sam yani?
Akello: Tojjukira Sam gwetwasomanga naye ebyamateka, kati asola mu Legal aid Project
e Kampala, buli lwenaberanga nekizibu ngatukyogerako ne Sam era
ngakinyamba nnyo. Naye kati andiwala nnyo era gwe mukwano gwange wekka
gwenninawo, mpulira ngankweyabiza bulungi mubuli kimu.
Odongkara: Era ekyo kyenyini kyembadde njagala twogereko olwalero .Lucy tumaze
mumukwano guno ekiseera kiwanvuko… okuva ngokyasoma ku kasozi e
Makerere era ngabwoyogedde tuli baamukwano ddala era tuyinza okuteekateeka
Okubera ffene awamu mubiseera ebyomumaso. Ndwowooza ontegedde bulungi
ate nze nkakasa nkwagala nnyo. Neesanga nkulowoozako nnyo enaku zino
okusinga bwekyali kibadde. Ndowooza nga luli ngakyali mussomero. Engeri
jembera nawe buli lunaku natandika okulowooza nti oba tuddemu tulowooze ku
12
nkolagana yaffe (asirikamu) mukwano Lucy Akello, muwala wa Yolamu
Oduladebe yekka (Akello amwentuka) onoonfumbirwa)
Akello: (Yeekanga asiriikira) katonda wange Shaban, kino ngakinguddeko bugwi!
Odongkara : Nedda mukwano nabakyala kino tukimazeemu ebbanga erimala okukiraba nti
buli omu aja mu munne naawe tewewuunya.
Akello: Nedda Nedda sikyeekyo lwakuba…….kale…………. Labayo nina emyaka abiri
mwena egyobukulu are gwe wangamba nti olina ana mumunaana Shaban, ekyo
kitegeeza nti emyaka gyo ginkubyamu emirundi ebiri. Tolaba nti ekyo kiba
kizibu?
Odongkara: Yiii emyaka babala mibale, ekikulu ye buli omu okutwala munne ngekintu
ekikulu mubulamu bwe nokukkiriza okubeera awamu abulamu bwaffe bwonna.
Kirowoozeko nkwekumidde abanga lino lyonna nkuwase, jjukira nakugamba nti
mbadde nakigenderera obuteejaajamya nga ninda oyo asaanira omutima gwange.
Era gwe owomukwano Lucy Akello gwe ogya mubulamu bwange nti sikyasobola
kwawula wakatiiwo nomutima gwange
(akello amwetuka) labayo nja kukuwa kyonna kyewali olooseeko, lowooza ebintu
byonna byewali olooseko, biri munze
Akello: (Amwentuka) Oh Shaban kale oyogera ebinyuma, omutima gwange guwewuka
ngankuwuliriza mpayo akadde nkirowoozeeko.
Odongkara; Kale kale mukwano nkuwadde obudde bwonna bwoyagala, nkimanyi ssi
kusalawo kwangu era senga ogezezaako okunziramu sandikwesize bulungi. Laba
obudde bwo buwuddeyo obukusobozesa okutuuka muyintavuyu, kankutwaleko
Akello: Webale nnyo Shaban neyanzizzannyo nebyokunywa mbadde ndakasidde bulala
Fx: Amagilaasi gawulirwa ngagategulwawo, obuyimba bugweekerere ebigere
byorekera omulyango era kiwulirwa nti abantu bali bweru
Odongkara: Tofaayo, kakkana, tegezaako maama era ombulire ebivuddemu lwonooba
wetegese. Sikyekyo?
Akello: Kale shaban, oli wakisa ate ateegeera. W’ebale nnyo, lwakuba ebintu bingi
bigenda mumaaso kati.
Fx: Enzigi za motooka ziwulirwa nga ziggula era ziggala, motoka evuuma. Evugibwa
mpola ngegenda, embozi egenda mu maaso.
Naakamaririza emisomo gyange, nkyanoonya mulimu,nkyamaliriza ebizibu ebiri
eka, ate ngatteko okufumbirwa? Nedda, tewali ngeri gyensobola kukaluubirira
mukwano gwange nabizibu ebyo byonna!
13
Odongkara: ( Aseka) mukwano lucy, tewali lwolibeera mugugu gyendi, mumazima, tewali
kizibu,nze nkitegeera
Fx: Emmotooka eyimirira
Akello: Webale kundeetako, tunaalabagana.
Odongkara: Kale,ntuule wano nkulindeko Naabakyala wange?
( yeesesa ng’omwana omuto)
Akello: Nedda olina ebyokukola bingi. genda, nze njakuyitirayo
Odongkara: Nedda mukwano, ebiseera bino ebyokkola byange biri munsi zebweru. Wano mu
Lira mbeera n’eby’okukola mukiseera kyamakungula, oja kunsanga wano nga
nkulinze
Akello: Webale nyo.
Fx: Aggulawo oluggi lw’emmotoka, ebigere biwulirwa nga agenda, ssimu ya
Odongkara evuga
Odongkara: Allo, Ndugu Juma, sema?
Juma: [Kusimu ] Bigenda bitya?
Odongkara : Yee, yee, nakamuleeta kati okukola yintavuyu,ateekwa kukkiriza, kijja kuba
kinyambye okuyingiza essente zongere amanyi mu mirimu jjange egy’obusuuzi !!
Neeraba nga nfuse naggagga, omusajja asinga amanyi ku taaka lyaba Luo
Mukama nyamba! Naye kino nina okukikola mukyama waleme kubaawo
amubuulira amazima kubinkwatako .Era kasita akkiriza ,ebintu byonna
njakubiyisa mubwangu nti wan’amanyira ekituufu nga nnamuwasa dda era nga
wange.Ajja kubeera nga takyalina kyakukola !! [aseka amajjemulukufu] sasa ,
nina okulaba ono omusiru agaanyi okuleka poloti ye ntebbe. .Alina kukkiriza
obukadde mukaaga agende .ate senga mikwanogye bafunye obukadde kumi
nabuna? Tulina okumulagamu enkola yekifirika ………Ee, wuno ajja ,ye empisa
zange ziruwa ? nina okwetereza nokwetegeka .[Juma aseka Odongkara asigala
kusiimu nga asirise]
Odongkara: Ng’oyanguyeeyo? Kiki? tebakwagadde? mbadde nkusubira okulwayo. Bigenze
bitya?
Akello: Twogeredde essaawa namba, naye nkakasa mujja kuvamu ekiramu.
Odongkara: Olimukyala mugezi nnyo atenga olina ebisanyizo byonna, batekwa kukutwala
bwebaba balowooza !!
14
Enjala etekwa kuba ngekuluma nnyo, tugende tulye ekyemisana mukafo akasirifu
ewalako nekibuga .
Akello: Kirungi !
Fx Emmotoka ewulirwa nga evugibwa egenda.
15
SCENE 4: MUMAKA GA ODULADEBE
Fx Motoka ewurirwa ng’etuuka wabweru, enzigi ziggulwaawo era oluggi
lw’ennyumba luggulwawo
Tereza: Kulikayo, mbadde ntandise okwelaliikirira, omanyi ebyennaku zino ku baana
abawala ngaggwe bizibuzibu okimanyi nti bakutwala nga kyatika ku kyalo kino ?
Ate ekyo kitegeeza nti nange akuzaala ndi wamugaso nnyo . Taata wo omujjukiza
kwebyo, biki ebyo byokutte?
Akello: Weebale maama, bino byakunywa odongkara byabagulidde.
Tereza: Ooh, kale yingira otuule wano, olunaku lugenze lutya ? ate yintavuyu?
Akello : Bigenze bulungi maama era nninayo essuubi.
Odongkara: Maama yintaviyu eruddewo ate nga njagala atuuke bulungi Kwekumuleetako.
Tereza: Weebale kubeera w’akisa Odongkara, otuyisa bulungi nnyo, emirimu gigenda
gitya?
Odongkara: Gigenda bulungi, tulina ebyokukola bingi engeri gyetugenda mu nnaku enkulu
ebintu mwebabiseerera, (asiriikirira) kale ,kangende banange obudde buyise.
Tereza: Ngoyanguye mukwano! omugenyi talina nakaalidde! Anti ekyggulo tekinaggya.
Odongkara: Tofayo ,njakulya olulala ndaba wano ka. Musule bulungi!
(Avuga nagenda)
Tereza: (Yeyogeza yakka naye mubwerarikirivu) eee! Ono omussajja nga asemberedde
nnyo muwala wange? ate nga alabika mukadde! Kansubirenti tamusendesende
kumukozesa kikolwa kya bwenzi, abasajja bennaku zino!! Ekitegeeza abadde
tawasanga ebbanga eryo lyonna? Ekyo kisoboka ? mbu ava kukyalo kyaba
Eseza,Enkya kumaliiri njakukeera mbuuze Eseza.
Oduladebe: (Yeeyogeza yekka nessanyu) ono omussajja mulungi nnyo ate mugagga,oba
ngambe muwala wange amwewoleko sente tusasule Opungor? Oba mwana wani?
Kale senga asaba okuwasa Akello, nze mukkiriza! Akello muwala mulungi nnyo,
mwagaliza omussajja omulungi nga ono.
16
SCENE 5 : WOTEERI
Odongkara: Tweweemu!
Akello: Tweweemu!! (amagilaasi gakoonagana)
Odongkara: Olwaleero twekulise yitavuyu mukwano anti ggwe wa ddiguli wekka eyabaddeyo
Akello: Tewesunga nnyo, anti bagamba nti tobalanga bukoko butannayalulwa n’o lugero
lwekiganda lugamba nti kyotonnalya…….
Odongakara: Nessiga emikisa gya Allah!
(Akuba mungalo) ssebo muwereza tuletere ebyokulya byemulina tulondeko,
webale mussajja wange…. Kandabe….tunalyaki mukwano?
Akello: Njakunywayo obutunda obulala, ekibumba ,chapatti ne salads.
Odongokara: (fuwa oluwa) muwala wange bwonolya bwotyo tojja kugejja.
Fx: Essimu ya Akello evuga
Akello: Allo, nze lucy Akello
Ochen: Nze peter Ochen nkubye kuva wano mu Ochen senior and Company Advocates,
Okukutegeeza nti yintavuyu wagiyita bulungi era owereddwa ekifo kya legal
assistant, bwoba okirizza, olina okutandika okukola kubbalaza ejja ssawa satu
ez’okumakya.
Akello (Nessanyu lingi) webale nnyo, tusisinkane kubbalaza (Akyukira odongakara)
Nkubulire, Ochen senior and co advocates kati otunuulira legal assistant
waabwe!!
Odongkara: Ngakirungi! saakugambye nti ojja kuyitamu?( amugwa mukifuba).
Ye walowooza ku kyennakusaba?
Akello: yee, na……na…………kkiriza, ndimwetegefu okuyitibwa mukyalawo,naye
ebintu tubit’wale mpola, kati ngabwenfunye omulimu , neetaga obudde
okutereera, ku nsimbi zo musaala gwange nina okusasulako opungor ebbanja lye
nga tetunategeka bya kwanjula. Tusobola kwanjula mwaka gujja
Odongkara: Kiki? Ngalwaki turinda? Bweziba nsimbi tewalariikira, ate era ndi mwetegefu
okubayamba mukutegeka emikolo gwokwanjula ate ngatekijja kukosa byabuko
bye naaleeta. Osobola okufuna ssente ezo kwanjula no kusasula ebbanja olya
Opungor ate okukulaga nga bwenjagala enyo ombeere okumpi, tutegeke
17
okwanjula kubeere kwa lwamukaaga olujja kubanga nina okugenda e Dubai mu
banga lya sande bbiri ate nga n’alyetaaze okugenda naawe.
Akello: O…o…o….kakasa? awo ebyokutegeka nga bibeera bingi !......................
Odongkara: Nkiteeza era nteesa embalirira tugikole kati nga ssina kutwala ka.
18
SCENE 6: AWAKA W’ABA AKELLO
Fx: Budde bwakawungeezi , Tereza asekula ebinyebwa nga eno bwayimba ,emotoka
ewulirwa engeyimirira era amaloboozi gwawulirwa ewalako. Okusekula
ebinyebwa kulekera awo…………………..
Tereza: kulikayo, olunaku lugenze lutya? Ha eno ebbugumu libadde lingi bulala! Engoye
zenayozezza zaakaze mu ddakiika buddakiika. He he ate ku luzzi, ojukira oli
omukazi oku……………. (Akello amulya ekirimi)
Akello: Webale maama, njakwogera nnamwe oluvanyuma kammale okuwerekera
Odongkara.
Odongkara: Osiibye otyanno maama?
Tereza: Nsiibye bulungi Odongokara, emirimu gyo gigenda gitya??
Odongkara: Bulungi, wano wagamba ki?
Tereza: Nina emboozi mpanvu eyinza nokuzibya obudde naye muwala wange
ngabwagambye nti oli mu bwangu…………..
Odongkara: Era kyekyo maama ndi mubwangu, naye nja kudda mangu. Kagende, (Akello
amuwerekera namufulumya era avuga n’agenda).
Akello: Maama ne Taata olwalero nnina ebyokubategeza ebigenda okuk’yusa obulamu
bwange bibiri, ekisookera ddala, gwe mulaba wano ye legal assistant wa Ochen
senior and company advocates.
Oduladebe/Tereza: O.O aleluya! mukama awulidde essala zaffe tunaatera okuwona obw’avu
buno, oluvanyuma lwebbanga eddene bwerityo, kiseera kyankulakulana.
Akello: (Abasala ekirimi nenseko)
Mujukire waliwo kyessinabagamba, mulindeko okumalayo amasanyu!! Waliwo
omusajja ansabye mufumbirwe nange nenzikiriza.
Oduladebe: Ngamawulire gasanyu!
Eh okufuna omusajja owukuwasa, kiki ekirala taata kyeyeetaaga? Akello musajja
ki oyo munnamukisa? olaba omuwala bwamaliriza emisomogye ateekwa
okufumbirwa nnaddala ngamaze okufuna omirimu nga ggwe.
Tereza: Naye lwaki opapa okufumbirwa! Ssooka otereere bulungi, ozimbe amakaago,
otandikewo ebyokukola ebyenjawulo, oteekwa okubaako nebibyo! Ye omusajja
gw’ogenda okufumbirwa omumanyi ebimufaako? Tumumanyi? Abantu be
bamanyidwa? Abee……….
19
Oduladebe: (Amusirisa) Naye ggwe omulamu nyo amanyi kati otandise okwonoona ebintu.
Gwe oyagala kulaba Akello nga ayononese afunye lubuto ngatafumbidwa
nakufumbirwa mubutongole? Wamma Akello musajja ki oyo munnamukisa?
Akello: Mwami Shaban Odongkara
Oduladebe: Wamma ddala oli muwala wange! Nange siraba musajja ayinza kumusinga, olina
omukisa! Tojja kukaaba nabya nsimbi wamu nomukwano nga oli eyo.
Tereza: Nedda, nedda, oyo omusajja mukulu nyo ku ggwe era nze waliwo ensonga lwaki
ssimwesiga, engeri jeyeyisaamu, alinga………………
Oduladebe: Kikyamu ki ekikuliko mukazi ggwe! Muwalawo asazeewo ekisingako obulungi,
lwaki tomuwagira? Ogwo si gwe mulimu gwabazadde abakazi?
Akello: Era asaba okwanjula kubeewo kulwomukaaga olujja.
Oduladebe: Kituufu, kituufu! Okwanguya kyekisingako obulungi!
Tereza: Abange muli balalu? Akello osobola otya okusalawo amangu kunsonga ezikwata
kubulamu bwo ate negwebayita omwami wange nakiwagira!
Nga mupappye? Olowooza tapapa kubanga waliwo ekigendererwa ekirala? Ate
jjukira kukyalo kino oli kyatika ……..!
Akello: Nedda maama, lwakubanga agenda kumirimu gye egy’obusubuzi e Dubayi
omwezi ogujja, ng’ate ayagala tugende ffembi. Ate agenda kutuwa ensimbi
zonna ezinategeka omukolo.
Odongkara: Mutabani wange nga mulungi! Tugenda kukuba ebinyonyi bibiri nejjinja limu;
okusasula Opungor, n’okufumbiza muwala waffe omusajja nagagga. Mukama
yebazibwe enkya nkeera kusisinkana mukulu w’akika akunge olukungana
olwamangu.
20
SCENE 7: AWAKA WA ESEZA
Fx: Omwana akaaba nga Eseza bw’amusirisa.
Tereza: Koodi (akonkona kuluggi lwa Eseza}.
Eseza: Kalibu, ng’otukedde bulala!
Buzibu ki? Kiteekwa okuba ekikulu nnyo.
Tereza: Wasuze otya mukwano gwange? munnange nze seebase wadde kutulo
nkubuulire, omanyi ono omusajja gwebayita odongkara? Ono gwenakugambako
nti asemberedde nnyo muwala wange, jjo Akello yatugambye nti yamusabye
okumuwasa nakkiriza, ssimanyi kiki kyamubaddeko alyoke akkirize, Okwanjula
kwa lwamukaaga, nkwegayiridde mbulira biki byomumanyiiko anti w’akukyalo
kyammwe.
Eseza: Odongkara …………Odong…….ye ssi ye Shaban ? (Tereza akkiriza mukaama )
Katonda wange , togezaako kwesembereza musajja oyo!! Amanyiddwa alina
olwebeeya lwabakazi nabaana , mbu yagamba agenda kutandikawo ggwanga lye.
Bagamba mbu alina ne sirimu, Akello ayinza atya okwonoona obulamu bwe
obwomumaaso noyo omusajja ? Kale alimba !! mulabule! Mugambe nti obugagga
buleme kumuziba maaso ajja kwejjusa. Katwenyumize ebirala ebirimu amakulu,
kankuwe kumwenge gwenasogodde onyweko.
Tereza: Webale naye sisobola kunywa kati. Okusinzira kuby’ongambye mpulira sagala
kunywa, nnina nebyokola bingi obudde kaakerera. Omanyi oduladebe gyali kati
ali mulukiiko lwakika bategeka mukolo gwakwanjula, kale abasajja bazibe
bamaaso!! Tolaba nti ayamba akello kusima ntaana ye! Kanyanguwe ngende
ndabe Akello……………………… omutima gunzitoye bulala.!!
21
SCENE 8: MUMAKA GA ODULADEBE
Tereza: Akello ake…………..111ooo, Ak…………….e….1110000 ?!
Akello: (Ajja awuukeera) Wangi maama
Tereza: Tuula wano, nina byenjagala okukugamba muwala wange, nkwenyumirizamu
nnyo era okuze nofuuka omukazi owobuvunaanyizibwa, ngatonnalowooza
kubyakufumbirwa,olina okumanya nti kyogenda okusalawo kigenda kubeerawo
obulamubwo bwonna, nolwekyo olina okukirowoozako ngatonnasalawo.
Mubufumbo buli kimu kyonna nganaawe mwogendedde kya musajja
Akello: Naye maama, ono omusajja bulijjo abadde anzikiriza okukola byenjagala
Tereza: Ebyo byonna bibeerawo ngamukyali mukuyigangana, naye kasita omufumbirwa,
ajja kukyuka, abassajja bwebatyo. Ye owange, omusajja omumanyi bulungi?
Omanyi abantu be nemikwano gye? Bagamba nti alina abakazi nabaana mbu era
alina ne siriimu.....
Akello: Yiii, maaama okwo kwonna kuwaayiriza! Abantu balina obuggya; Odongkara
yagamba nti abantu bamulinako obuggya kubanga mugagga nnyo mbu ate nze ndi
muwala mugezi. Nze yangamba dda nti ebyo bijja kubaawo naye ggwe maama
wange ddala?! (avaawo mubusungu)
Fx: (Ekiro mubuliri)
Tereza: Lwaki tosooka noyimirizaamu entegeka zomukolo okutuuka ngatumaze
okwetegereza ebikwata ku odongkara ? Mpulira mbu alina ebikumi ne bikumi bya
bakazi nabaana mbu era alina siriimu. Naye ddala naawe toneekakasa musajja
ono. Lwaki to……………
Oduladebe: Komaawo! Ebigambo ebyo ebikyamu obijja wa? Gwe nemikwano gyo mwagala
nyo okwonona amanya ga bannamwe. Muwala wo muleke abere ekyo kyayagala.
Ggwe tolaba nti omusajja amwagala nnyo? Kino kyekiseera
wewandimuwaniriride! Bwekibera bwe kityo atenga twetaga nensimbi okusasula
Opungor tewali buzibu. Njakukera nnyo kumakya ndabe omukulu wekika akunge
olukiko olwamangu.
Handsome: Kantw’ale omukisa guno okubaaniriza kumukolo guno. Guno mulundi gw’akubiri
mu myezi ebiri nga akello atuleeta mumaka gano. Njakubanjulira abantu
abenjawulo naye mukaseera kano kampite bazadde ba Akello babaanirize
mubutongole mu maka gano. (bazadde ba Akello bayimirira mumaaso
gabantu)
22
Oduladebe: Nina essanyu lingi okubaanirizi mwenna mumaka gange naddala ngatutandikawo
omukwano ogwenkomeredde. Kampite omukulu wekika ababuulire ekika kyaffe
nebikwata ku Akello, naye ngatannaba kujja kampite Tereza, maama wa Akello
ababuuzeeko..
Tereza:
Mbanirizza mwena, mwebale kujja mumaka gaffe. Bansabye mbabuuzeeko naye
nsamba buli ekigenda mu maaso wano kiwandikibwe. Mwebale nnyo
Omukulu wekika: Era ntwala omukisa guno okwaniriza abagenyi bonna, abazadde wamu
nemikwano mu lukungaana luno. Mugenda kufuuka bakoddomi baffe.
Kambabuulire ebikwata ku Akello. Akello yazalibwa ku kyalo kino
munsiisira eyali eriraanye omuti ogwo gwemulengera nga 2nd January
1982, nolwekyo bwobalamu awezezza emyaka 25 egyobukulu.
Obutaboonerera biseera yakamaliriza emisomo gye wano mu October
womwaka guno ngera kati akola nga Legal Assistant mu bannamateeka
mu kibuga, mwebale okumpuliriza.
Mc: Mukadde nkwebaza olwebigambo ebyo, kaakati, kampite omwogezi
okuva ku ludda lwa mwami Odongkara ayogere jemuli.
Juma: Ndimusanyufu okuyimirira mulujja luno ngomuko. Ffe tuva mukika kya
Otorogole mu kyalo kya Ogoba, Tuzze ne Mwami Odongkara naggagga
mukibuga kino era nga alina emyaka 48 nga yemugenyi omukulu. Ekyennaku,
bazaddebe bombi tebaliiwo, mulekwa, naye nga wano tulinawo Bassenga’be, ba
kkoja, baganda be nemikwanogye. Ebbanga eryo lyonna abadde anoonya mubeezi
era ssii mufumbo. Tuleese obukadde 5, ente 20, embuzi 30 nebintu ebirala.
Kamotoka kalamba, nga mulimu ssabbuuni, mafuta, sukaali, eby’okwambala bya
maama ne taata. Kansuubire nti munabikkiriza mutuwe muwala wammwe.
Mbasaba mujje mulambule ebisulo.
FX: Obuluulu!! Nga abantu basituka okugenda okulaba ebisolo n’ebirabo
ebirala.
Handsome: Kampite omukulu w’ekika atwale ebirabo wamu n’okukwasa Akello ab’ekika kya
Ogoba.
FX: Obuluulu! Abakyala babiri bawulirwa nga boogera mubantu.
Omukazi 1: Nja kufuba okuweerera muwala wange naye asobole okufuna ddiguli asobole
okufumbirwa nnagagga.
23
Omukyala 2: Tereza yeesiimye, nange njakufuba muwala wange asome amaleko.
Akiikirira Oduladebe:
Okusinziira ku kwebuuza mu bakulu ab’enjawulo mu Kika ebintu
tubikkirizza era tuli beetegefu okubawa muwala waffe abeere maama wa
baana bammwe, kansuubire nti Odongkara ssi mufumbo nga bwe
mugambye (alangirira nti embaga ya lwamukaaga olujja era oluvannyuma
bagende e Dubai okuwummulako)
FX: Obuyimba bukubwa ng’abantu bwe balya era bwe banywa.
24
SCENE 9 MUMAKA GA SHABAN AGE KAMPALA
Akello: Njagala kuleeta muto wange tubeere naye tusobole okumuyamba engeri bazadde
bange jebatalina nyingiza eri awo
Odongkara: Ate essente zennabawa ng’ebyobuko ne nte zonna. Oba essente zabaggwako
batunde ente
{Ngawayiseewo emyezi mukaaga}
Odongkara: Twakamala kati emyezi mukaaga mubufumbo naye tonnafuna lubuto, kizibu ki?
Akello: Nze mmanyi ssirina kizibu mpozzi nga gwe okirina.
Odongkara: ( ataama ) Kiki?
FX: Odongkara nobusungu awuuba omukono akube Akello oluyi naye Akello
alwewoma
Nyabo kankutegeeze,bakazi bange banzaalira abaana lwebeeya, gwe noyagala
okugamba nti ssiri musajja!! Oli musiru nnyo! Ate enkya batabani bange
Sulaimani ne Akamada bajja batandike okubeera wano naffe!!
Akello: Na.... naye....
Odongkara: Sirika! Njagala oleme kugwa mu nsobi: Entebe ezo oziraba? Emmotoka?
Ennyumba? Ensimbi zange zonna? Byonna byew’eyagaliramu wano byange, ate
naawe mwenkutwalidde. Omusaalagwo, abaana bo bwoliba ozadde, mwenna muli
bintu byange!!
25